Luke 6:24-26

24 a “Naye zibasanze mmwe abagagga,
kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu.
25 b Zibasanze mmwe abalya ne mukkuta kaakano,
kubanga mulirumwa enjala.
Zibasanze mmwe abaseka kaakano,
kubanga mulikungubaga, ne mukaaba.
26 c Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana,
kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.”
Copyright information for LugEEEE